Add to: | Nafuuka muntu mulamu baana ba ssebo eyali omukoonyi wendigi zonna dippo naziggala Nga mukumpoomera gunyenyeeza n'obulya n'engunya n'abagutunda ndeka bakutte kuttama Nga abo abatya waragi mbatiribiza enteke ng'anti tumuwuuta nokukira ssupu w'enkoko Gw'abanga mukomyo ngo oluusi tukeera munkoko fee no'olwo ne twegonza nga tuli balenzi ba nnusu. Nga ngusunda n'ekyaalo ne nkimatiza era okugwa mu ba seya nze gwolaba mpitwa ssebo. Nga nnina ekiwanga ki lugalika bita okutamiira bi bbiya obu chupa nganzika asatu Nga tumasamasa kukira bisiro bya nyange ffe totuyita bano ba buyonjo bumponeka ku mikolo Ne tweyagala netulumya buli kye bayita kitonde kunsi ya mukama ekiwulira nti kya tukyaawa Nga tuli b'amaanyi okusinga ku ssaba ssaba nge era ko twanganga ekikonde tukikkiza bbege Twaali kabwanango n'abafuuwa sigala mu'nfuumulira ffege tukwamula e'kikuwujja HHHo!! Atakulaba y'akugaya.. Twa kyakaza obulamu... Twa bonya bonya ebiwato.... Twa digida omuziki..... Twa yayaanya ebiwala...... Banangeeeee....gwaali mulembe!! Temundaba ebiseera bino okukyaayibwa enkumu ssebo nali muganzi nga olulyo olulangira Nga n'kugambye ngenda n'entabe e'bukunja jye mutya N'emba nga omuyaga nkoma bwegutaba ngulaba mu nyanja Mu ddoboozi lyange lino elye mpola mpola mukama lye yangemulila ngo olusi mbeera nne guitar N'endya mu ndago ebiwala ne bijya biyirigita nga atlina bbina wakiri akunya omugongo mmulabe Ddoboozi lyange bweriti anti lya mpola mpola mukama lye yangemulila okuwantaganyula enjiri Banange omwenge ngunywedde n'engumatira naye terikalungi kendabye mukigambo mubisi Ssiringa avumirira oba okujerega abanywa naye nkusaba otege okutu ssebo nkulojjera mubisi Omwenege mperekeze ya sitaani eya namadala oba muyite omubaka gwasooka okuwereeza mu banywa Atte omubaka oyo amwesiga kyotonna laba bwa kuba siyasa ku kikumi wa fikka babiri Yye sitaani n'agenda okutaba mu bali ekyenda mwomunaana nga bbona bamufuuyira milele N'alamula nga mpaawo amukuba ku mukono okujako ye okwetya neyekwatira mu lwe'ngabi Vva nekuttamiiro luli luguudo lwenyini sitaani mwajja atuyita ffena okugwa eddalu Ekintu ekikuyisa w'osula atte n'ojja opaala ogende okonkone eyo gyotomanyi gubeera mugomyo Gukukwaata ne'wezira kigambo mukazi kukusala mumaaso buba bukya ate n'obyejjusa Gulina no'tuzzi tweweyuwako oku naabuka ensonyi gwo tegulina gwe gutiisa maaso muzira nabike Omwenge!!!! Eya guyiiya asobola Tugunywa gusanyusa obulamu Nnaayeee tegututawanyiza nneyano Mubutuufu omwenge ngunywedde nengumatira naye siganyudwa mu ndabye n'tamiriide bure Gwo teguliko sente ebeera egumala kuba oguwera kumutwe gwe gulamuza ogukyaali mumalebe Bwezilaalira ensawo afasaazli ogabula engabule loodi omanyise ddunia bwoli omulenzi o'wennusu Atte nze gwantama kwooya baganzi ku bbali era guwoomera njulo nga waliwo gwayita mummy Mu kadde ako akukumira eka afuka kikazi nga anti edakiika zo kumudisa gwe tibye bugule Olwo nakyo ne'kyaanukula kiffefenga daddy ensimbi n'ofukumula olabye ekigambo mubisi kati nno bagutusabe ebiri okugumugulira oggunya oluvanyuma olwo ng'ayenze gumuvumula onozimuwa Mwattu gumanyi nokuzira omwooyo gwe'mmere gwe loodi noyooya ndigi gwe gukusikambula body Beebo bosanga nga afanaana nga obwaluma nzera n'embugubu nezi mugwa obusukuttu bwempale Teguliiko butono bwansobi ne'bweekona kagere olu sinzitukka ne'bwooba mulamu bakulangira mubisi Ntya nt'ettamiiro!! Hha Omwenge! Akyagunywa n'eya gukoowa!!! N'asuubira o'guyiga wesibe satu!! Mubutuufu mmekese amazzi wansi w'enjuba naye n'tamiridde bure teri kk'enajya mumubisi Abayivu bagukeera noja ogamba nti diguli zaabwe ate bbo baziwenja mu bu chupa Atte tebakulimba nti gw'ofuga kigambo mubisi biba biwanga ng'ebimu byo byasala leerwe N'osanga oli nga ye enyindo ojuvunba endeku o'ggenda o'jjinyulula nga enyonyi zimukungula empeke omulala ng'obugiraasi y'awuuba buwuube omulabi n'eyewwunya nti oba alina yye wagusibira Kye bayita hangover kwe kukya nga gukugoya eyabadde omuntu nga weleze nga olukoba lwa guitar Awo tewaba mulimu obanga mulwadde w'anseke akameeme nekamala ka'kkuba nanti obutunda onywa ne'ddebe Kkiriza lwa mpaka gwakunywa neya gukoowa nti kyo kigambo mubisi abanywa tutamiirira bure Gututusa ku bingi nkumu gubafuula mu mpisa abadde omuntu n'ojotaama okwenkana enjuki Sso bwe guba gwa kigero gulina kye guyamba kuba banji emirimu bw'ateeka mu akawaasa bukwakko Nnaye kye womereze bwaatyo... Ngamba kasta asukka... Osengejja nkeenko... Gutufuula e'byelolerwa.... Oooomubisii!!! 110 have viewed this page! |
|||||